Job 31

Obutukuvu bwa Yobu

1 a“Nakola endagaano n’amaaso gange;
obutatunuulira muwala n’amaaso ag’obukaba.
2 bKiki Katonda kye yandinsasudde okuva waggulu,
omugabo ogwandivudde eri oyo Ayinzabyonna ali waggulu?
3 cEmitawaana tegijjira abo abatali batukuvu,
n’okulaba ennaku ne kujjira abakola eby’obujeemu?
4 dAmakubo gange gonna tagalaba,
era tamanyi ntambula yange?
5 eObanga natambulira mu bulimba
era nga n’ekigere kyange kyayanguyiriza okukola obukuusa;
6 fleka mpimibwe ku minzaani ya Katonda
amanye obutuukirivu bwange.
7 gObanga ekigere kyange kyali kikyamye okuva mu kkubo,
n’omutima gwange ne gugoberera amaaso gange,
engalo zange ne zibaako ebbala lyonna;
8 hkale nsige, omulala abirye,
weewaawo ebirime byange bikuulibwe.
9 iObanga omutima gwange gwali gusendeddwasendeddwa omukazi,
oba ne mmuteegera ku mulyango gwa muliraanwa,
10 jkale omukazi wange ase eŋŋaano y’omusajja omulala,
n’abasajja abalala beebake naye.
11 kKubanga ekyo kyandibadde kya kivve,
ekibi ekiŋŋwanira okubonerezebwa.
12 lOgwo gwandibadde muliro ogwokya okutuusa mu kuzikirira,
ogwandyokezza ebyange byonna bye nasimba.”

Abaddu n’Abaavu Okubassaako Omwoyo

13 m“Obanga nnali nnyoomye ensonga y’omuddu wange oba omuddu wange omukazi,
bwe banninaako ensonga,
14kale ndikola ntya Katonda bw’alinnyimukiramu?
Era bw’alimbuuza, ndimuddamu ki?
15 nEyantonda mu lubuto nabo si ye yabatonda?
Ffenna si ye yatukola mu mbuto za bannyaffe?

16 o“Obanga nnamma omwavu ekintu kyonna,
era obanga nakaabya nnamwandu;
17 pobanga nnali ndidde akamere kange nzekka
atalina kitaawe n’atalyako,
18kubanga okuva mu buto bwange namulera nga kitaawe,
era okuva mu lubuto lwa mmange nayamba nnamwandu.
19 qObanga nnali ndabye omuntu yenna ng’afa olw’okubulwa ebyambalo,
oba ali mu kwetaaga atalina kye yeebikka;
20mpozzi omutima gwe, gwe gutansiima,
olw’okumubugumya n’ebyoya by’endiga zange;
21 robanga nayimusa omukono gwange eri abatalina bakitaabwe,
kubanga mmanyi nti, mmanyiganye n’ab’obuyinza,
22 skale omukono gwange gukutuke ku kibegabega kyange,
leka gukutukireyo mu kinywa we guyungira.
23 tOlw’okutya okuzikirizibwa Katonda n’olw’obukulu bwe,
nnali sisobola kukola bintu ng’ebyo.

24 u“Obanga nateeka obweyamo bwange mu zaabu
oba ne ŋŋamba zaabu ennongoose nti, ‘Ggwe bwesige bwange;’
25 vobanga neeyagala olw’okuba n’obugagga obungi,
oba olw’okuba emikono gyange gy’ali ginfunyisizza bingi;
26 wobanga nnali ntunuulidde enjuba,
oba omwezi nga byaka mu kitiibwa,
27omutima gwange ne gusendebwasendebwa mu kyama,
ne mbinywegera nga mbisaamu ekitiibwa,
28 xera n’ekyo kyandibadde kibi ekiŋŋwanyiza okusalirwa omusango
olw’obutaba mwesigwa eri Katonda ali waggulu.”

Abalabe n’abagwira Okubassaako Omwoyo

29 y“Obanga nasanyuka ng’omulabe wange afunye emitawaana
oba ne njaguza olw’ebizibu ebyamutuukako,
30sakkiriza kamwa kange kwonoona
nga nkolimira obulamu bwe.
31 zAbantu b’omu nnyumba yange bwe baba tebabuuzanga nti,
‘Ani atakkuse nnyama?’
32 aaTewali mutambuze yasula ku kkubo,
kubanga oluggi lwange lwali luggule eri buli muyise.
33 abObanga nakweka ekibi kyange ng’abantu bwe bakola,
nga nkweka obutali butuukirivu bwange mu mutima gwange,
34 acolw’okutya ekibiina,
nga ntya okuswala mu kika,
ne nsirika ne ntya n’okufuluma ebweru,
35 adso nga waliwo ayinza okumpulira,
leka nteekeko omukono ku mpoza yange, leka Ayinzabyonna anziremu;
n’oyo ampawaabira abiteeke mu buwandiike.

36“Ddala ddala nandibyambadde ku kibegabega kyange,
nandibyambadde ku mutwe ng’engule.
37 aeNandimunnyonnyodde buli kifo we nalinnya ekigere,
nandimusemberedde ng’omulangira.

38 af“Singa ettaka lyange linkaabirira,
n’ebinnya byalyo bye nsimye ne bitotobala n’amaziga;
39 agobanga ndiddemu ebibala awatali kusasula,
era ne ndeetera bannannyini lyo okufa,
40 ahleka omwennyango gumere mu kifo ky’eŋŋaano,
n’omuddo oguwunya gumere mu kifo kya sayiri.”
Ebigambo bya Yobu byakoma wano.

Copyright information for LugEEEE